Home News Amasengejje

Amasengejje

Catch our luganda news bulletin everyday at 7PM only on NBS tv.

Olukiiko olukulembera essomero lya Kawempe Muslim Primary School bawakanyizza ekyakoleddwa mufuti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje okugabanya ettaka okutudde essomero lino. Kulwokutaano oluwedde Mubajje yagabanya ettaka lino wakati w’essomero ne family emu bwebaali bagugulana.
Katikkiro waBuganda Charles Peter Mayiga asabye gavumenti eyongere okunyweza ebyokwerinda by’omulangira Qassim Nakibinge. Katikkiro okwogera bwati kiddiridde okuttibwa kwa Shk Major Muhammad Kigundu eyakubwa amasasi ku nkomelero ya wiiki eyakaggwa kyokka nga era kigambibwa nti n’omulangira Nakibinge y’omu ku bassibwa ku lukalala lwa basiraamu abatirimbulwa.
Cakala ne Omuyimbi Naira Ali
Ebintu bingi byobadde tomanyi ku Andrew Felix Kaweesi bibino NBS ebikuletedde
Abali mu bulimi bagamba nti bufuna kiralu, kyoka abatalima naye nga bagala obuyingira batya nti bitwala ensimbi nnyingi nettaka eddene. Wabula Mary Margret Kasaijja alima butiko agamba nti obumalirivu kyekyetagiisa kyoka okufuna mu bulimi.
Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere Irimangoma leero asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti e Jinja naavunanibwa omusango gw’obutemu. Omumbere alabiseeko mu kkooti e Jinja olweggulo lwa leero mu kkooti esooka ey’omulamuzi John Francis Kaggwa era nga takkiriziddwa kwewozaako bwatyo nasindikibwa ku alimanda okutuusa nga 13 omwezi ogujja.
Abatuuze b’e Kasokoso ne Bukasa abaalemesebwa okusisinkana sipiika ewiiki ewedde ne leero balemeseddwa okusisinkana omukulembeze w’eggwanga gwebabadde balumbye mu maka ge ag’e Ntebe okumutunuza mu nsonga yaabwe ey’okubagobaganya ku ttaka okugenda okuzimbibwa oluguudo lwa Kampala-Jinja Express Highway. Abatuuze bano ababadde mu bikumi bakedde kukunnganira Ntebe nga baagala okusisinkana Pulezidenti...
Emikutu gimugatta bantu ku mutimbagano gwa Internet nga facebook ne whatsapp bwegyeyongedde okuyoola omusimbi mu mpeereza mu mawanga ag’enjawulo, gavumenti ya Uganda n’ebalabuukirila. Gavumenti eramula kuno kati eyagala okugabana ku nsimbi zino.
Oluvanyuma lw’omutanda okugulawo omwaka 2017 mu lubiri e Mengo lyabadde ssanyi gyerere, era ebiriroliro ebyakubiddwa mu lubiri byogeddwako okuba nga byebyasinze. Wabula wakati mu kusanyuka kiteberezebwa nti abamu omulangira segamwenge yabalinye ku jjoba era okukakana nga batandiise okukasuka amayina amacupa nebirala.
Mu liigi yamatendekero agali mu Uganda Uganda Martyrs University Nkozi batunse ne Kyambogo University gugenze okuggwa nga.
Ssendekero wa Makerere amalirizza okutikkira abayizi ab’omulundi ogwa 67 ng’olwaleero 3,109 beebafunye amabaluwa gaabwe aga diguli ne diploma. Mu bano mwemubadde n’akulira ekitongole ky’amawuwlire mu NBS, John Baptist Imokola akoonodde diguli eyokubiri mu Mawulire n’empulizanya.
Kkooti ejulirwamu egobye abadde omubaka w’ekibuga kamuli hajat wetongola mu paalimenti lwa kukizuula nti ono obuyigirize bwe bwali bubulamu nnyo nga tebugwanira kubeera mu paalimenti ya uganda ewali abantu ab’ebitabo ebingi Salama Musumba yeeyawaabira Hajjat Weetongola nti talina bitabo era tagwanidde kubeera mu paalimenti.
Nga Bannayuganda abalala, ssettendekero wa Uganda Christian University e Mokono nabo ebigambo bibaweddeko anti babadde balinze Andrew Felix Kaweesi n’abakulu abalala okwogerako eri abayizi. Eno omusasi waffe asanzeeyo omwogezi wa UPDF, Richard Karemiree Frank Baine owa ekitongole kya Makomera nga bano amawulire go kuffa kwa munabwe gabakubye wala.
Omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi akubeddwa amasasi kumakya kwa leero, nga avva ewuwe e Kulambiro. Kaweesi yakubiddwa awamu ne driver we, ate ne body guard nebafirawo. Poliisi egamba etandise okunonyereza ku butemu buno;
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM Dr Tanga Odoi alabudde eyabadde omubaka wa munisipaali y’e Kamuli Hajat Rehema Watongola, nti tekamutanda n’addamu okwetaba mu kalulu ng’akozesa empapula ze ezitaawera ezaatuuse n’okumugobesa mu ppaalamenti. Ye Watongola akyalemeddeko nti y’akutte bendera ya NRM era nga tewali ajja kumutiisa. Waliwo ebyogerwa nti mu mwezi...