Home News Amasengejje

Amasengejje

Catch our luganda news bulletin everyday at 7PM only on NBS tv.

Fiona Mutesi Attottodde Olugendo Lwe
Updf Yaakusindika abaserikale abasoba mu 1000 mu nsi Somlaia okuyambako okuzza emirembe mu kitundu kyensi kino ate n’okuyamba ku magye agaliyo Bino byonna biggyidde mu ndagaano eyakolebwa wakati wa Uganda ne Somalia era nga bano basiibuddwa ku ttendekero lyamagye ery’e Ssingo
Polisi y’e Ntebbe eyisizza ebiragiro ebikakali eri bannannyini bifo ebicakalirwamu abadigize n’abagoba b’ebidduka byebagenda okugoberera mu bikujjuko bya nowere n’okumalako omwaka. Poliisi egamba nti ebiragiro by’eyisizza ssi byakuzannisa era ataabigoberere kaakumujjuutuka kuba babiyisizza ku lw’obulungi bwa bonna.
Munnamateeka omugundiivu era omu ku beenekennya ssemateeka wa 1995 professor Fredrick Ssempebwa alabudde nti ennongoosereza Gavt zeeyagala okukola mu tteeka ly’ettaka tezeetaagisa mu kiseera kino. Omukenkufu Ssempebwa mu mboozi ey’a kafubo ne NBS ategeezezza nti talaba bukulu bwa nnongosereza mu tteeka lya ttaka kuba lirimu buli kyetaagisa okufuga ettaka mu...
Micho yandiba nga tali ku bunkenke nga tiimu y’eggwanga y’etegekera omupiira gwa Comoros nga bweyatutegezeza eggulo, wabula bw’otunulira engeri gy’eyegenderezamu mukudtendeka abazannyi, kino wandikibusabusa. Leero tubala lunaku lwakubiri okuva bano lw’ebatandise okutendekebwa era nga e ssira kuluno alitade ku kugamba mupiira.
Ebyobulambuzi lyerimu ku makubo gavumenti yakuno mwegya obutitimbe bwensimbi kyokka nga ezibitekebwamu zibadde zikyali ntono ddala. Kati gavumenti esitukiddemu okwongera ku bintu ebigenda okusikiriza abalambuzi abajja kuno nga egenda kusookera ku kussaawo ensimbi ezigenda okutunda Uganda mu mawanga amalala.
Wabaddewo vvawo mpitewo wano ku Kalererwe wakati w’abantu ababadde bolekera Namboole okulaba empaka z’omupiira gw’amasazza ne Poliisi, era poliisi etuuse n’okujjayo omuka ogubalagala,gwekubye mu bantu ababadde bajirwanyisa okujijjako gw’ebadde ekutte. Ate e Gomba abantu basattu bafudde nga nabo babuuwe babadde bagya ku mupiira gwa Masaza.
Okukyala kw’omutukuvu Ppaapa Francis gwali mukisa gwa njawulo nnyo eri Uganda. Namugongo yayoyootebwa era ekifaaananyi kyonna ne kikyusibwa, ku kiggwa ky’abajulizi abakatoliki mpozzi ne ku ky’abakulisitaayo. Omwaka guweze omulamba kasooka ppaapa ajja mu Uganda, wano ku NBS TV twongera okukutusaako ebyaliwo oluvannyuma lw’omwaka.
Abatuuze b’omu Ggombolola y’e Ziroobwe e Luweero bazize eddwaliro lya Gavt eriri ku ddaala lya Health Center three lwa mpeereza yalyo ebbi n’obutabaamu ddagala. Abasajja bano n’abakazi bagamba nti wadde bali mu kyalo bamanyi bulungi eddembe lyabwe era tebayinza kwesiba ku ddwaliro mutali basawo.
Mu muzanyo gwa Rugby mu mpaka za Uganda Cup Kobs ekakanye ku Rhinos negikuba goolo 29 ku 16.
Mu mpaka za Azam Uganda Premier League Erisa Ssekisambu akutudde aba Bul Fc mu kisawe e Nakivubo bwabakubye goolo ebamali Riza mu ddakiika eye nkaaga bwebatyo nebawangulwa.
Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga alabudde ku bulabe obuli mukya basajja okukira bakazi baabwe nebatulugunya ng’ebyokuttale, kyagamba nti kivuddeko nabamu okufiirwa obulamu saako amaka okusatulukuka. Kadaga era azeemu nayambalira abakyamulemeza ku mimwa olwokugenda ku lusozi Nenda ng’amaze okuwangula obwa Sipiika nti bwebaba tebalina byakukola banune ku vvu.
Ekimbe kya Cholera kyolekedde okuzingako abali e Koboko ng’entabwe eva kukyabutaba na kabuyonjo, olwo abasinga ebyayi nebabisala mu nsiko, ate abakyafu empitambi bamala gamansa nga bwebagala nga kino kitadde obulamu bwabasinga mu katyabaga. Ministule yebyobulamu olulabye nga guli guti nebakana ne kawefube w’okusomesa abeeno engeri yokuzimbamu kabuyonjo.
Abantu b’omu district y’e Kaliro bali mu kubonabna okutagambika olwebbula ly’amazzi eribasuza nga batunula. Enzizi zeeyo zaakalira dda ng’abantu amazzi baasigalira kugasena mu bidiba omunywera ente ekitadde eby’obulamu mu kitundu kino mu katyabaga. Katulabe embeera nga bweri
Oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okussa ababadde abayambi ba poliisi mu ggye ezzizibi, abantu bangi baasigadde beebuuza engeri gyebagenda okukolamu emirimu gyabwe. Olwaleero omwogezi w’eggye lya UPDF, Brig. Richard Karemire agambye nti bateeseteese dda ekifo ky’abantu bano abagenda okubegattako essaawa yonna, gyebagenda okutenderwa.
Abakulembeze ba disitulikiti y’e Kisoro balumbye ofiisi za NAADS wano mu kampala nga baagala basasulwe ensimbi ze babanja ekitongole kino, ze bagamba nti baaguza gavumenti amajaani n’etabasasula. Bano nga bakulemberwa ssentebe waabwe Abel Bizimana bagamba babanja gavumenti obuwumbi munaana mulamba oluvannyuma lwa gavumentyi okubapatana okugiguza ensigo y’amajjaani mu nteeketeeka ya...
Obunkenke bweyongedde mu birombe bya zaabu e Mubende oluvanyuma lwa Gavumenti okuwa abalombe n’abakoleramu emirimu emirala ssabbiiti emu yokka okubyamuka. Abaddukanya ebibiina ebiwola ensimbi nabo emitima gibakubira mu mitwe olw’ensimbi ennyingi zeeboolekedde okufiirwa ssinga abalombe bebaaziwola bamala ne bagendera ku kiragiro kino.
Hajji omukukuutivu e Nakaseke akubye abakrisitayo abasoba 200 enkata bwabazimbidde ekanisa ebadde ekulungudde emyaka egisoba mu 70 nga yalemera ku musingi. Ekanisa eno ezimbiddwa ku kyalo Migyingye mu district y’e Nakaseke. Era abakristayo katono baffe essanyu.
Bannakibiina kya FDC balangiridde enteekateeka ez’okwaniriza amukama wabwe Dr KIzza Besigye bw’anaaba adda ku butaka ng’ava e Bulaaya gy’akulungudde akaseera akawera. BannaFDc nga bayita ku mikutu egy’enjawulo bakunze abantu babeegatteko ku ntujjo ey’okwaniriza omuntu wabwe. Wabula poliiisi ya Uganda egambye nti yeekengedde aba FDC bano, nti bandibaawo n’olukwe olw’okutabulatabula emirembe, n’okucankalanya...
olunaku lwenkya tiimu KIU Titans yakuttunka ne City Oilers mu muzannyo ogusooka mu luzannya olwakamalirizo mu mpaka za liigi y’eggwanga ey’ensero. Tiimu zombi malirivu okukola buli kisoboka okuwangula ekikopo kino.