Home News Amasengejje

Amasengejje

Catch our luganda news bulletin everyday at 7PM only on NBS tv.

Katikkiro waBuganda Charles Peter Mayiga asabye gavumenti eyongere okunyweza ebyokwerinda by’omulangira Qassim Nakibinge. Katikkiro okwogera bwati kiddiridde okuttibwa kwa Shk Major Muhammad Kigundu eyakubwa amasasi ku nkomelero ya wiiki eyakaggwa kyokka nga era kigambibwa nti n’omulangira Nakibinge y’omu ku bassibwa ku lukalala lwa basiraamu abatirimbulwa.
Olukiiko olukulembera essomero lya Kawempe Muslim Primary School bawakanyizza ekyakoleddwa mufuti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje okugabanya ettaka okutudde essomero lino. Kulwokutaano oluwedde Mubajje yagabanya ettaka lino wakati w’essomero ne family emu bwebaali bagugulana.
Abali mu bulimi bagamba nti bufuna kiralu, kyoka abatalima naye nga bagala obuyingira batya nti bitwala ensimbi nnyingi nettaka eddene. Wabula Mary Margret Kasaijja alima butiko agamba nti obumalirivu kyekyetagiisa kyoka okufuna mu bulimi.
Ebintu bingi byobadde tomanyi ku Andrew Felix Kaweesi bibino NBS ebikuletedde
Okuvaako e Luuka ekisangibwa mu BUsoga waliwo omusajja abadde yeeyita Nabbi, naye ono asimattukidde watono okugajambulwa endiga ze. Kigambibwa nti omusajja ono Fred Namoka abadde yasuubiza abagoberezi be okugenda mu ggulu, naye ekyamagero tekituukiridde olwo endiga ze ne zeerya omuguju.
Emikutu gimugatta bantu ku mutimbagano gwa Internet nga facebook ne whatsapp bwegyeyongedde okuyoola omusimbi mu mpeereza mu mawanga ag’enjawulo, gavumenti ya Uganda n’ebalabuukirila. Gavumenti eramula kuno kati eyagala okugabana ku nsimbi zino.
Cakala ne Omuyimbi Naira Ali
Omuyima w’ekisinde kya People power Robert Kyagulanyi Ssentamu aludde ddaaki nayatula nti wakuvuganya kubwa pulezidenti mu 2021 era nti bannakisinde kye bakuvuganya ku bifo by’obukulembeze byonna okutuukira ddala ku byaalo. Kyagulanyi asabuukuludde enteekateeka gyalina n’amawanga g’ebweru era nti wakusinziira ku bizze biremesa abantu okuwangula obwa pulezidenti asobole okukyuusa obukulembeze.
Akabenje e Kiboga, Ekilwadde kya Hepatitis
Kkooti ejulirwamu egobye abadde omubaka w’ekibuga kamuli hajat wetongola mu paalimenti lwa kukizuula nti ono obuyigirize bwe bwali bubulamu nnyo nga tebugwanira kubeera mu paalimenti ya uganda ewali abantu ab’ebitabo ebingi Salama Musumba yeeyawaabira Hajjat Weetongola nti talina bitabo era tagwanidde kubeera mu paalimenti.
Oluvanyuma lw’omutanda okugulawo omwaka 2017 mu lubiri e Mengo lyabadde ssanyi gyerere, era ebiriroliro ebyakubiddwa mu lubiri byogeddwako okuba nga byebyasinze. Wabula wakati mu kusanyuka kiteberezebwa nti abamu omulangira segamwenge yabalinye ku jjoba era okukakana nga batandiise okukasuka amayina amacupa nebirala.
Omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi akubeddwa amasasi kumakya kwa leero, nga avva ewuwe e Kulambiro. Kaweesi yakubiddwa awamu ne driver we, ate ne body guard nebafirawo. Poliisi egamba etandise okunonyereza ku butemu buno;
Mu kaweefube w’okuddiza abalabi ba NBS TV ne SALAM TV eyatandikibwa okuzimba omuzikiti gw’e Kabasanda, agenda bukubirire era atwala emikutu gya tv zombi Kin Kariisa olwaleero atuuseeyo era nga gy’asaalidde Juma
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti pulezidenti Museveni yavvoola dda endagaano gyeyakola ne Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu 2013, eyali okuddiza Buganda ebyaayo. Mukuuma ddamula ategeezezza bannamawulire mu Bulange e Mengo ku mbuga enkulu ey’obwakabaka, nti ebintu ebyaddizibwa katundu butundu ku lukalala Buganda nga gavumenti...
Abatuuze b’e Kasokoso ne Bukasa abaalemesebwa okusisinkana sipiika ewiiki ewedde ne leero balemeseddwa okusisinkana omukulembeze w’eggwanga gwebabadde balumbye mu maka ge ag’e Ntebe okumutunuza mu nsonga yaabwe ey’okubagobaganya ku ttaka okugenda okuzimbibwa oluguudo lwa Kampala-Jinja Express Highway. Abatuuze bano ababadde mu bikumi bakedde kukunnganira Ntebe nga baagala okusisinkana Pulezidenti...
Ku kyaalo Kitwekyanjovu eKyazanga mu district ye Lwengo abaayo basiibye bakungubaga oluvanyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kwa Kaweesi
Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere Irimangoma leero asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti e Jinja naavunanibwa omusango gw’obutemu. Omumbere alabiseeko mu kkooti e Jinja olweggulo lwa leero mu kkooti esooka ey’omulamuzi John Francis Kaggwa era nga takkiriziddwa kwewozaako bwatyo nasindikibwa ku alimanda okutuusa nga 13 omwezi ogujja.
Oluvanyuma lw’ebibadde mu paalimenti munda, buli ludda luvuddeyo lwewaana nga lulaga nga bweruwangudde nga abali ku ludda oluwakanya ekiteese kino bagamba balemesezza NRM nga n’aba NRM bagamba obukkakkamu bwabwe bubawanguzza. Naye byonna, bonna bawere okuttunka wiiki ejja.
Mu liigi yamatendekero agali mu Uganda Uganda Martyrs University Nkozi batunse ne Kyambogo University gugenze okuggwa nga.