Amasengejje

Catch our luganda news bulletin everyday at 7PM only on NBS tv.

Abaddukkanya omulimu gwokusabaza abantu mu Baasi boolekedde okugudddukka olwebizibu bybalimu mu kiseera kino. Bano ollwalleero bannyonyodde minisita wa Kampala ebizibu mwebakolera ebinatera okubagobba mu ppaaka za baasi. Olwaleero ba minisita ba Kamppala lwebalambudde paaka za Baasi zonna mu kibuga Kampala.
Ababaka ba palamenti n’ebitongole byona ebikwatibwako kyadakyi bikiliziganyiza nti okulonda kwa bassentebe b’ebyalo wonna mu ggwanga kube kwa mwezi guno nga kugenda kuba kwa kusimba mu mugongo. Ne minisitule y’ebyensimbi ekkirizza okwongera akakiiko k’ebyokulonda ensimbi okuva ku buwumbi 10 okudda kubuwumbi 15 naye ng’akakiiko kasigadde keemulugunya nti ensimbi zino tezimala.
Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti John Muwanga olwaleero ayanjulidde palamenti alipoota ey’omwaka 2015/16, wabula n’alaga obwennyamivu ku nsimbi gavumenti z’erina okusasula mu kuwangulwa emisango ezeeyongedde okutuuka ku buwumbi mukaaga n’ekitundu. Muwanga era agamba nti obufere bweyongedde mu kusasula abakozi ab’empewo nga wano gavumenti efiirwa obuwumbi obusoba mu 11 buli mwaka.
Banabyabufuzi abasinga tebagala kuwulila kukaya kuvamutebbe nga abamubatuka nokugulilira obululu okusobola okwekumila mutebbe naye ye Luwakyanya John Mary oluvanyuma lyokubela sentebe wa LC3 okumala emkya kumu wasalawo okwabulira ebyobufuzi asobole okudda mukulima kubayakilaba nga sente mwezisinga nga kati ono alima mwanyi.
Ababaka ba palaamenti abeegattira mu kisinde kyebayiise “NRM Members of Parliament Thinktank” basabye sipika wa Palamenti Rebecca Kadaga ateekewo akakiiko ak’enjawulo kanoonyereze ku kyebayise munyago gw’obuwumbi omusanvu obwagabanyizibwa abakungu ba gavumenti 42 abaali mu musango gwa Gavt ya Uganda ne kampuni y’amafuta eya Tullow. Ababaka bano baagala era okumanya lwaki...
Abantu 9 bafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde eKyawagoonya ku luguudo oluva eMasaka okudda eLyantonde Akabenje kano kabaddewo enkya yaleero, taxi ebadde egezaako okwewala ente ebadde esala ekubo, owa baasi nagyekaanga olwo emotoka endala nezitomeregana
Abavubuka abooza mmotoka mubifo ebyenjawulo e Mulago bemulugunyizza olwokulemererwa okufuna ku ssente ezabaweebwa omukulembeze we ggwanga omwaka oguwedde. Aboozi b’emmotoka bano abaakazibwako erya Bakanaabe bagamba nti emisoso egyatekebwaawo omuntu mwayita okufuna ku nsimbi zino mikwambwe nnyo era tebannagganyulwa.
Abakelembera ggombolola y’e Kawempe bawaliriziddwa okuggala kampuni y’aba China ekola enguudo eya CHINA RAILWAY SEVENTH GROUP CO LTD oluvannyuma lw’abakozi okwekalakkasa nga bavumirira embeera embi mwebakolera emirimu. Abakozi era balumiriza bakama baabwe okukaka abakazi omukwano ssaako omusaala ogutaweza na lubatu lwa ngalo sso nga n’ebikozesebwa mu mulimu gwabwe bya kkekwa.
Entiisa ebuutikidde abatuuze ekyalo Kabulassoke mu Ggombolola ye Madudu e Mubende omuko Mande Lawrence bwafumise ssezaala we ebiso ebimuggye mu budde. Entabwe evudde ku muka Mande kunoba n’afumbirwa omusajja omulala ate taata n’aleemera omuzukkulu Mande gwamaze ebbanga ng’abanja.
Ab'e Lubirizi Bakoze Eddagala Ly'ebirime
Ekitebe ky’obusiraamu ku kasozi Kampalamukadde kirabudde Gavumenti olwa basajja baayo okumala gayingira mu migiti nga tebagoberedde mateeka na nnono za busiraamu. Ssabawandiisi w’olukiiko lw’obusiraamu, Haji Ramahan Mugau agamba nti wadde beetegefu okukolagana ne Gavt ssinga ebaako kyeyeekengedde mu muzigiti gwonna naye tebagenda kukkirizza kumala galumba mizigiti n’okwonoona ebintu byamu.
Omuloodi mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago woowulirira bino nga takyatuula wadde okwebaka otulo oluvannyuma lwa minisita wa kampala omuggya Beti Kamya gweyalwanyisanga naye gavumenti okuyisa ekiragiro nti Lukwago tasasulwa wade omunwe gw’ennusu kwezo zaabanja Gavumenti Ekiragiro kino minisita Kamya akiyisizza mu Nankulu wa Kampala Jeniffer Musisi ssemakula
Mu kafubo ak’enjawulo omusasi wa NBS kaabaddemu ne pulezidenti wa Somalia, Hassan Sheikh Mohamud agambye nti ssinga anaawangulwa mu kalulu ka bonna akabindabinda mu ggwanga eryo, tajja kuloonzalonza okukwatamu ebibye okwamuka amaka g’obwa president. Hassan Sheikh Mohamud era tayagala kuwulira gamba nti eggye lya Uganda People’s Defense forces live mu...
Waliwo ababaka ba palamenti abagugumbudde bassentebe b’obukiiko bwa palamenti naddala abava mu mu kibiina kya NRM nga babalumiriza okwegatta ku gavumenti okulwawo okuwa palamenti emirimu, ekintu ekyongedde okuleetera ababaka okuba babbulwa-bikolwa. Ababaka bagamba nti gavumenti okulwawo okwanjulira palamenti amabago pulezidenti geyabasuubiza kirabika waliwo abakozi ba gavumenti mu ministule abaagala okunafuya...
Omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti y’e Nakawa Noan Ssajjabbi ne leero ayongezzaayo okuwulira omusango gwokutta Kenneth Akena oguvunaanibwa Mathew Kanyamunyu. Olwaleero werutuukidde era ng’omuwaabi wa Gavt tannakunganya bujulizi bumala. Bbo ab’oluganda lw’omugenzi Akena bagambye nti baagala kimu, bwenkanya mu musango guno
Tetwagala Byabufuzi Mu 2017 - Beti Kamya
Besigye Akkirizza Okuteesa Ne Museveni