Abazigu Basse Omukuumi wa Equatorial

0
696

Poliisi wano mu Kampala ekedde ku mugomyo era n’ezingako ekizimbe ky’amaduuka ekya Equatorial, ng’eyigga ba kkondo abaalumbye ekizimbe ekyo ne batta n’omukuumi abadde akikuuma.
Poliisi egambye nti abasuubuzi abakolera ku kizimbe ekyo be bagitemezzaako nayo kwe kusitukiramu.
Obulumbaganyi obwo buleseewo akasattiro ku kizimbe.