Ogwa Ssematimba Gukomyewo mu Kkooti

0
614

Okuwulirwa omusango gw’omubaka wa Busiro south Peter Ssematimba kugudde butaka, ba puulida be bwe bazze mu kkooti ejulirwamu nga tebeetegese bulungi.
Sematimba yoomu ku babaka abaddukira mu kkooti ejulirwamu nga bawakanya kkooti enkulu eyabagoba mu paalimenti ku nsonga ez’enjawulo.
Kkooti eno etandise okuwulira abaajulira abasoba mu 97, ng’esoose na kutuuza ba puliida ab’enjuyi zombi bamumuunye mu nsonga, wabula aba Ssematimba babadde tebeetegese.