Yaaya Atemudde Mukozi Munne Lwa Kasasiro

0
1018

Entiisa ebuutikidde abatuuze b’omu Lugonjo Nakiwogo mu muluka gw’ekiwafu, Yaaya bwakkakanye ku mukozi munne mu maka namufumita ebiso mu bulago namuttirawo. Omukozi ono atemera mu gy’obukulu 15 yafumise munne ategeerekeseko elya Mukisa nga abadde amulanga kukoza ndebe mwaliisiza embizzi ate yye n’ayiwamu kasasiro.

More News