Abalwadde Batuuse Okutufaako – Basawo

0
625

Embeera mu ddwaliro ekkulu e Mulago yeeraliikiriza okuva abasawo abakyasoma lwebasalawo obutaddamu okukwata ku mulwadde yenna nga bawakanya ekyokugalibwawo kwa ssettendekero wa Makerere.
Abalwadde bangi abasasi baffe babasanze nga basinda mpaawo ayamba bagamba nti bakeesa lukya nga nkoko ya mutamiivu, kuba nabasawo abatono abaliyo nabo balajana kuba emirimu gibayize obungi.