Makerere Yandiggalwa Okumala Emyezi Esatu

0
1084

Ebya Makerere University okuggulwa bifuuse gannyana aganywebwa omuwangaazi. Amawulire agavudde mu paalimenti gategeezezza nti akakiiko akasiddwawo gavumenti okunoonyereza ku mivuyo egiri mu ssentendekero ono kaakukulungula emyezi esaatu miramba. Kino kitabudde ababaka ne bagamba nti tebasobola kukkiriza Makerere kusigala nga muggale okumala ebbanga eryo lyonna, ekiwaliriza sipiika Rebecca kadaga okulangirira olutuula olw’enjawulo olunateesa ku Makerere enkya ku lw’okusatu.