Paalimenti Eddamu Nkya

0
1083

Olunaku lwenkya, ababaka ba paalimenti lwebagenda okuddamu okuteeseza eggwanga oluvannyuma lw’okumala omwezi omulamba nga bali mu luwummula wabula nga bbo balina okusomozebwa kwamaanyi bwotunuulira ebigenda mu maaso mu ggwanga. Ababaka boogedde bbo byebaagala bissibwe ku mwanjo mu kuteesa mu paalimenti nga kuno kuliko okuggula kwa Ssettenddekero wa Makerere, ebyenfuna by’eggwanga ebisereba enkya n’eggulo, enjala ani amuwadde akatebe eri mu bitundu by’eggwanga ebisinga nensonga endala nnyingi.