Bannaddiini Bali Kasese Banoonyereza

0
736

Bannadiini nga bayita mu kibiina ekibagatta ekya Inter Religious Council of Uganda bakkiridde e Kasese, bagenze okunonyereza ekivaako ekinyoolankoto ekitaggwa mu bitundu eby’e Rwenzururu, n’okutabaganya abantu.
Bannaddiini batuuseeko mu lubiri lw’Omusinga omwali okulwanagana, ne bakyalira n’abantu abaafiirwa abantu babwe mu ddukadduka oyo.
Abalyoyi b’emyoyo abo basazeewo okukuba enkambi e Kasese, okuwooyawooya abantu beeyo, n’oluvannyuma bateme omusingi ogw’okuteesa emirembe ne gavumenti.