Abaserikale Basimattuse Okugajambulwa

0
954

Wabaddewo akajagalalo ku poliisi e Nama abatuuze bwe balumbye poliisi eno nga baagala okugajambula abasirikale ababadde bawambye batuuze bannaabwe babiri nga babatadde mu bbuutu y’emmotoka eya buyonjo.
Eby’embi kwe kuba nti ekibinja ky’abasirikale bano tekibadde mu yunifoomu ate nga n’emmotoka mwe batambulira ya buyonjo ng’ate balina emmundu.