Museveni Ayatudde ku Kugaba Ebyapa
Ng’enkaayana z’ettaka zeeyongera buli lukya mu Uganda, President YKM aweze okufaafagana ne bannakigwanyizi abalabizza bannayuganda ennaku olw’ettaka.
Museveni asinzidde ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’abazira b’e gwanga egikwatiddwa e Zirobwe mu district y’e Luweero n’agamba nti tekiri mu mateeka kuwaliriza muntu yenna kufuna kyapa okusobola okubeera ku ttaka.