Besigye Asiimye Eby'e Kenya

0
922

Byebyo ebivudde mu kkooti e Kenya naye, Bakira byonna bisomwa nga ne munna FDC Rdt Col. Dr. Kizza Besigye owaakuno amatu akunkumula era byonna ebisaliddwawo bisanyudde Besigye byansusso, era omusasi waffe agenze omutuukako nga essanyu lyarina lya mwoki wa gonja. Wabula bwegutuuse okukuba tooci oba ekituuse e Kenya kisobola okutuuka wano, awo neyennyamira naagamba nti okujako nga owakuno afunye ku nsonyi naatandika okuswalako, tekisobola nga era ye kyekyamugaana nookugenda mu kkooti.