MinisitaTumukunde Bagenda Kumuloopa

0
365

Mu buufu bwebumu Bawannyondo ba kkooti bavuddemu omwasi ku ntambuuza y’emirimu gyabwe, nga ku mulundi guno bawera okukuba minister w’bobutebenkevu Lt Gen Heny Tumukunde mu mbuga z’amateeka olw’okwekiika mu mulimu gwabwe jjo lya balamu bwebaali bagenze okusengula omugagga nnyini Panamera Bar Desh Kananura. Bawannyondo bagamba enkola ng’eno ebalemesa okukoola ate ng’ebiseera bingi baba bataddemu n’ensimbi gamba ng’okusasula amafuta ga poliisi ebeera egenze okubakuuma.