Omusajja Ono Raphael Magyezi!

0
295

Omubaka wa Igara West Raphael Magyezi eyaleeta ebbago erijja ekomo ku myaka gya Pulezidenti ategeezezza nti oluvannyuma lw’okuggusa ensonga ye, kati ate agenda kwetegereza ensobi eziri mu ssemateeka wa Uganda aggyemu ebirowooza ebirala ebiyinza okukyusibwamu nga bweyakoze ku nningo eya102B. Nga ayogeramu n’omusasi waffe ku palamenti Sam Ibanda Mugabi, omubaka Raphael Magyezi ategeezezza nti okusoomoozebwa kwayiseemu ku bbago lino kumwongedde embavu n’obukugu bwagenda okukozesa okwanja amabago amalala.

More News