Akabenje Ku Lw’e Gulu

0
358

Abantu Musanvu bafiiriddewo mbulaga baasi ya kampuni ya HMK ebadde edda eggulu nga eva kampala bwesaabadde Prado number UAY 727Q wakati w’olutindo lwa Kafu k’e Kigumba mu district y’e Kirandongo. Abagenzi bonna babadde batambulira mu prado sso ng’ababadde mu baasi bafunye ebisago ebimu nga bya maanyi. Abalabye akabenje kano bagamba nti entabwe evudde ku misinde emingi abagoba b’ebidduka byombi kwebabadde. Emirambo n’abalumiziddwa batwaliddwa mu ddwaliro e Kiryandongo. Poliisi ezze erabula lunye Bannayuganda okwewala okuvugisa ekimama n’okuvuga endiima bawone obubenje naddala mu biseera bino eby’ennaku enkulu.