Ettemu e Mubende

0
370

Abazigu ababadde babagalidde ejjambiya n’emiggo balumbye abatuze b’e Mubende nebatemateema abantu okukkakkana ngomuyizi omu attiddwa. Ettemu lino likoleddwa ku kyalo Kalonga ekisangibwa mu gombolola y’e kitenga mu disitulikiti y’ e mubende Nga mu kiseera kino abasimattuse bakyali mu kujjanjabibwa mu ddwaliro ekkulu e Mubende.