Akalulu ka LC1 Kengedde, Abasinga Bagenda Kulonda Gusooka

0
747

Abagala obukulembeze ku byalo obwoya bunatera okubagwa ku ntumbwe anti bava nju ku nju nga bawenja akalulu, wabula e Luwero abaayo batidde ebyokusimba mu mugongo nga bagamba nti byandireeta empalana n’obukyayi. Bano bagamba nti bwetabe ntanya nga kkumi omwezi guno bandisigalira ddala awaka okusobola okwewala empalana.