'Bamusirike' Bakomewo Oba Nedda?

0
277

Omukulembeze w’eggwanga olunaku olw’eggulo yalangiridde nti gavt egenda kuzzaawo abaserikale bamukuuma byalo bebaali baakazaako erya “Musirike.” Wabula abakulembeze mu Kampala ne Wakiso betwogeddeko nabo, bagamba nti kino kiyinza obutakola kuba ebyokwerinda ebiyuuga ate okubyongeramu emmundu endala, embeera eyinza okusajjuka obusajjusi. Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago ne minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga mu gavt ey’ekisiikirize Muhammad Muwanga Kivumbi bagamba nti okwongera emmundu 24,000 mu Kampala kyandyongera obumenyi bw’amateeka mu kibuga n’emiriraano.