Akakiiko ka COSASE Kayise aba Banka Enkulu

0
802

Akakiiko ka paalamenti akavunaanyizibwa ku bitongole bya gavumenti kyaddaki kayise abakulu ba Banka enkulu eya Uganda n’olukiiko olufuzi mu kitongole kyekimu balabikeko gyekali ku Lwokusatu lwa wiiki ejja, bannyonnyole ebikwata ku banka z’obusuubuzi eziwera ziggalwa mu myaka egiyise. Ssentebe w’akakiiko ka paalamenti kano Abdu Katuntu n’omumyukawe Anita Among batutegeezezza nti ensisinkano eno egenda kuteka essira ku nsonga ezaateekebwa mu alipoota ya ssaaababalirizi wa gavumenti ku nsobi ezaakolebwa mu kuggala banka z’ebyobusubuzi musanvu.