Abayizi Ba Pulayimale Basse Munnaabwe

0
1076

Abayizi n’abasomesa ku ssomero lya Bunalweni Primary School baguddemu ekikangabwa, abayizi babiri bwebasse ku munnabwe nebamukuba okutuusa lwebamusse. Isabirye Mwandha Muhamudu abadde Head Boy w’essomero lino yakubiddwa banne abamuggye mu budde ng’entabwe evudde ku mugenzi kukozesa buyinza obwamukwasibwa n’avunaana omu ku bayizi banne ababadde batuuse ekikeerezi era nga asoose na kumuweweenyulamu kiboko. Kino nno kyekiggye abalala mu mbeera nebamukuba era gyebikkidde nga yakkiridde dda ezzirakumwa.