Lwaki Bannauganda Tebagula Bya Wano

0
613

President Yoweri Museveni ku luno alumye n’ejjiiko, mu kisanja kino ayagala bannayuganda bakomye okulagirizanga ebintu by’ebunaayira, bawagire ebintu ebikolebwa bannayuganda.
Ensonga eno president yagisimbyeko amannyo ng’aggulawo omwleso gwa bannamakolero e Lugogo ate n’addamu okugikkaatiriza ng’ali e Busoga ku mikolo gy’ameefuga.
Bannamakolero bakikubidde mu ngalo nti kino bulijjo kye balafuubanira, wabula bannabyabufuzi bakijunguludde, bagamba nti olwo lwafuuka luyimba, nti azze aluyimba okuva mu 86 nga yaakawamba.